Eggulu I: Heaven I (Luganda)
Publication Language


LOOKING TO PLACE A BULK ORDER?CLICK HERE

Piracy-free
Piracy-free
Assured Quality
Assured Quality
Secure Transactions
Secure Transactions
Fast Delivery
Fast Delivery
Sustainably Printed
Sustainably Printed
Delivery Options
Please enter pincode to check delivery time.
*COD & Shipping Charges may apply on certain items.
Review final details at checkout.

About The Book

Katonda kwagala takoma ku kukulembera buli mukkiriza eri ekkubo lyobulokozi wabula nokumubikkulira ebyama bye ggulu.Wakiri omulundi gumu mu bulamu bwomuntu abaako nebibuuzo nga bino Ndaga wa oluvannyuma lwobulamu mu nsi eno oba Ddala eggulu ne ggeyeena gye biri? Abantu bangi bafa nga tebannafuna byakuddibwamu eri ebibuuzo nga bino oba ne bwe baba bakkiririza mu bulamu oluvanyuma lwokufa si buli muntu agenda mu ggulu kubanga si buli muntu nti alina byamaanyi ebituufu. Eggulu ne ggeyeena si bintu bya ku kukuba bukubi bufaananyi wabula bintu ebiriyo ddala mu nsi eyomwoyo.Ku ludda olumu Eggulu kifo kirungi nnyo kyotayinza kugeerageranya na kintu kyonna mu nsi.Nnasaba era nensiiba obutalekayo okumala emyaka musanvu okusobola okumanya ebikwata ku ggulu era nentandika okufuna okuddibwamu okuva eri Katonda. Kati Katonda Andaga bingi ku byama byomu nsi eyomwoyo mu buziba bwabyo. Kubanga eggulu terisobola kulabibwa kizibu nnyo okunyonyola eggulu nolulimi saako amagezi gensi eno. Wayinza nokubaawo okulitegeera obubi. Ye nsonga lwaki omutume Paulo teyasobola kwogera ku nsi ensuubize eyomuggulu eryokusatu mu bujjuvu gye yali alabye mu kwolesebwa. Katonda era yansomesa ebyama bingi ku ggulu era okumala emyezi mingi nabuulira ku bulamu obujjudde essanyu nebifo ebyenjawulo ebyokubeeramu mu ggulu nempeera ezenjawulo mu ggulu okusinziira ku kigero kyokukkkiriza kwomuntu. Wabula nali sisobola kubuulira ebyo byonna bye nali njize mu bujjuvu. Ensonga lwaki Katonda Anganya okwasanguza ebyama ebyensi eyowomwoyo bissobole okumanyibwa abantu okuyita mu kitabo kino kwe kulokola emyoyo egiwera nga bwe kisoboka era gisobole okugenda mu ggulu eryo eritangalijja ngejjinja eryomuwendo omungi ennyo.
downArrow

Details