Ggeyeena: Hell (Luganda)
Publication Language


LOOKING TO PLACE A BULK ORDER?CLICK HERE

Piracy-free
Piracy-free
Assured Quality
Assured Quality
Secure Transactions
Secure Transactions
Fast Delivery
Fast Delivery
Sustainably Printed
Sustainably Printed
Delivery Options
Please enter pincode to check delivery time.
*COD & Shipping Charges may apply on certain items.
Review final details at checkout.

About The Book

Ennaku zino abantu bwe bawulira ebikwatagana ku Ggulu ne Ggeyeena abasinga baddamu mu ngeri ewakana nga bagamba Nyinza ntya okukkiriza ebintu ngebyo mu biseera bino nga sayansi atangazizza buli kintu? Wali obaddeko mu ggulu oba Ggeyeena? oba Ebintu bino obimanya omaze kufa. Olina okukimanyirawo nti waliyo obulamu obulala oluvanyuma lwokufa. Obudde bujja kuba buyise nnyo gwe okukitegeera nga oli mu kussa omukka ogusembayo. Ngomaza okussa omukka ogusembayo ku nsi kuno ojja kuba tolina mukisa mulala okubeera mu bulamu bwayo. okujjako okulindirira okusala omusango okwa Katonda kwokka ngomwo mwojja okukungula bye wasiga ku nsi kuno ebikulindiridde. Okuyita mu Baibuli Katonda yatubikkulira dda ekkubo eryobulokozi okubeerayo kweggulu ne Ggeyeena nomusango ebijja okubaawo okusinziira ku kigambo kya Katonda. Yakola ebintu ebyewunyisa ebyamaanyi Ge okuyita mu ba nnabbi mu Ndagaano Enkadde ne Yesu. Ne leero Katonda akulaga nti Mulamu nti era Baibuli ntuufu ngalaga ebyamagero obubonero nebintu ebirala ebyewunyisa ebyamaanyi Ge ebyawandiikibwa mu Baibuli okuyita mu baddu be abeesigwa era abamugondera. Wadde obujjulizi bwebyo bye Yakola bungi wakyaliyo abatakkiriza. Nolwekyo Katonda alaze abaana Be eggulu ne Ggeyeena era yabakubiriza okuweera obujjulizi ebyo bye balabye eri ensi yonna. Katonda kwagala nange yambikkulira eggulu ne Ggeyeena mu bujjuvu era nankubiriza okutambuza obubaka buno mu nsi yonna ngokudda kwa Kristo okwokubiri bwe kuli okumpi ennyo. Bwe nabuulira obubaka obukwata ku bintu nga bwe binaabeera mu Ntaana eya Wansi eya ggeyeena nnalaba abantu bangi abaali bawuliriza nga bakankana olwokutya nokwerariikirira nokukaaba olwemyoyo egigudde mu bibonerezo byomu Ntaana eya Wansi. Emyoyo egitalokoleddwa gibeera mu Ntaana eya Wansi okutuusa nga Okusala Omusango ogwoku Namulondo Ennene nga kumaze okubaawo. Ngokusala omusango kuwedde emyoyo egitalokoleddwa gijja kusuulibwa mu nnyanja eyomuliro oba ennyanja eyekirungo kya sulfur. Ebibonerezo byomunyanja eyomuliro nennyanja erimu ekirungo kya Sulfur ayokya bisingako kwebyo ebyomu Ntaana eya wansi. Mpandiika ebyo Katonda bya mbikulidde okuyita mu mulimu gwOmwoyo Omutukuvu nga byesigamiziddwa ku kigambo kya Katonda mu Baibuli. Ekitabo kino kiyinza okuyitibwa obubaka obwokwagala okwa ddala okuva eri Katonda Kitaffe oyo ayagala okulokola abantu bangi nga bwe kisoboka okuva mu kibi ngabasobozesa okumanyirawo ennaku-etakoma eyomu Ggeyeena. Katonda awaddeyo omwana We okufa ku musalaba okulokola buli muntu. Era ayagala okulemesa wakiri omwoyo gumu okugwa mu Ggeyeena embi bwetyo. Katonda atwala omwoyo ogwo ogumu okuba nga gusinga ensi yonna era abeera musanyufu nnyo era Akyagala nnyo era ajjaguliza awamu neggye eryomu ggulu wamu ne bamalayika omuntu bwalokolebwa mu kukkiriza.Ekitiibwa kyonna nokwebaza mbiddiza Katonda oyo annungamiza okufulumya ekitabo kino. Nsuubira nti mujja kutegeera omutima gwa Katonda oyo atayagala kufiirwa wadde omwoyo ogumu okugwa mu Ggeyeena nti era mujja kufuna okukkiriza okutuufu. Era Mbakubiriza nomutima gwange gwonna okubuulira enjiri eri emyoyo egyo gyonna egidduka eri Ggeyeena.
downArrow

Details